Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

BEERA BULINDAALA!

Ebbugumu Okweyongera ku Kigero Ekitabangawo mu Nsi Yonna—Bayibuli Ekyogerako Ki?

Ebbugumu Okweyongera ku Kigero Ekitabangawo mu Nsi Yonna—Bayibuli Ekyogerako Ki?

 Mu Jjulaayi 2022, lipoota zaalaga nti ebbugumu lyeyongera nnyo mu nsi yonna:

  •   “Omulundi ogw’okubiri mu mwezi guno, abakungu mu China balabudde nti ebbugumu lijja kweyongera nnyo mu bibuga 70.”—Jjulaayi 25, 2022, CNN Wire Service.

  •   “Ebbugumu eryeyongedde ennyo mu Bulaaya liviiriddeko omuliro okusaasaana mu bifo bingi.”—Jjulaayi  17, 2022, The Guardian.

  •   “Ku Ssande ebbugumu lyeyongera nnyo mu bibuga bingi mu Amerika; ku mwalo gw’Ebuvanjuba, mu Bukiikaddyo ne mu Masekkati ga Amerika.”—Jjulaayi 24, 2022, The New York Times.

 Bino byonna bitegeeza ki? Ekiseera kirituuka ensi n’eba nga tekyasobola kuwanirira bulamu? Bayibuli ekyo ekyogerako ki?

Okweyongera kw’ebbugumu kituukiriza obunnabbi bwa Bayibuli?

 Yee. Okweyongera kw’ebbugumu kye kimu ku bintu Bayibuli bye yalagula ebyandibaddewo mu kiseera kyaffe. Ng’ekyokulabirako, Yesu yalagula nti twandirabye “ebintu ebitiisa.” (Lukka 21:11) Okweyongera kw’ebbugumu kiviiriddeko bangi okweraliikirira nti abantu bajja kusaanyaawo ensi.

Ekiseera kirituuka ensi n’eba nga tekyasobola kuwanirira bulamu?

 Nedda. Katonda yatonda ensi abantu basobole okugibeerako emirembe gyonna. (Zabbuli 115:16; Omubuulizi 1:4) Mu kifo ky’okuleka abantu okusaanyaawo ensi, ajja ‘kuzikiriza abo aboonoona ensi.’—Okubikkulirwa 11:18.

 Lowooza ku bunnabbi bwa mirundi ebiri obulaga ekyo Katonda ky’asuubiza:

  •   “Olukoola n’ensi enkalu birijaganya, n’eddungu lirisanyuka era lirimulisa ng’amalanga.” (Isaaya 35:1) Katonda tajja kuleka nsi kufuuka ddungu, wabula ajja kuzza buggya ebifo ebyayonoonebwa.

  •   “Olabirira ensi, ogisobozesa okubala ennyo era n’okubaamu eby’obugagga bingi nnyo.” (Zabbuli 65:9) Katonda ajja kufuula ensi ekifo ekirabika obulungi.

 Okusobola okumanya engeri enkyukakyuka mu mbeera y’obudde gye kituukirizaamu obunnabbi bwa Bayibuli, soma ekitundu ekirina omutwe Climate Change and Our Future—What the Bible Says.”

 Okumanya ebisingawo ebikwata ku kisuubizo kya Bayibuli eky’okuzza obuggya ensi, soma ekitundu ekirina omutwe, Who Will Save the Earth?