Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Pawel Gluza/500Px Plus/Getty Images

BEERA BULINDAALA!

Omuwendo gw’Ensolo ez’Omu Nsiko Okukendeera Ebitundu 73 ku buli Kikumi mu Myaka 50 Egiyise—Bayibuli Ekyogerako Ki?

Omuwendo gw’Ensolo ez’Omu Nsiko Okukendeera Ebitundu 73 ku buli Kikumi mu Myaka 50 Egiyise—Bayibuli Ekyogerako Ki?

 Nga 9 Okitobba 2024, ekitongole ekiyitibwa World Wildlife Fund kyafulumya lipooti ekwata ku ngeri abantu gye baleetedde ensolo ez’omu nsiko okukendeera. Lipooti eyo yalaga nti “mu myaka 50 egiyise, kwe kugamba, okuva mu 1970-2020, ensolo z’omu nsiko zikendedde ebitundu 73 ku buli kikumi.” Lipooti eyo era yagamba nti: “Tuyinza okugamba nti ebinaabaawo mu myaka etaano egijja, bye bijja okusinziirwako okumanya obulamu bwe bunaabeera ku nsi.”

 Abantu bangi bawulira bubi bwe bawulira lipooti ng’ezo. Twagala obutonde era bwe tulaba ng’ensolo ez’omu nsiko zisaanawo, kituyisa bubi. Ekyo kiri kityo kubanga Katonda yayagala tulabirire ebisolo.—Olubereberye 1:27, 28; Engero 12:10.

 N’olwekyo tuyinza okwebuuza, ‘Abantu banaasobola okukuuma ensolo z’omu nsiko ne zitasaanawo? Kiki Bayibuli ky’egamba?’

Essuubi lye Tulina

 Wadde ng’abantu bafuba okukuuma ensolo z’omu nsiko zireme kusaanawo, ekyo tekisoboka. Katonda yekka y’asobola okuzikuuma. Okubikkulirwa 11:18 wagamba nti, Katonda ajja ‘kuzikiriza abo aboonoona ensi.’ Olunyiriri olwo lutulaga ebintu bibiri:

  1.  1. Katonda ajja kuleetera abantu okulekera awo okwonoona ensi.

  2.  2. Katonda anaatera okubaako ky’akolawo. Ekyo tukimanya tutya? Kubanga leero abantu basaanyizzaawo ensolo ez’omu nsiko okusinga bwe kyali kibadde.

 Kiki Katonda ky’agenda okukola okugonjoola ekizibu ekyo? Ajja kukozesa gavumenti ye ey’omu ggulu, kwe kugamba, Obwakabaka bwe, okufuga ensi yonna. (Matayo 6:10) Gavumenti eyo ejja kuyamba abantu abawulize okuyiga engeri gye basobola okulabirira n’okukuuma ensolo ez’omu nsiko.—Isaaya 11:9.