Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

hadynyah/E+ via Getty Images

BEERA BULINDAALA!

Olutalo n’Enkyukakyuka mu Mbeera y’Obudde Byongedde ku Kizibu ky’Ebbula ly’Emmere—Bayibuli Ekyogerako Ki?

Olutalo n’Enkyukakyuka mu Mbeera y’Obudde Byongedde ku Kizibu ky’Ebbula ly’Emmere—Bayibuli Ekyogerako Ki?

 Olutalo olugenda mu maaso mu Ukraine, nga kw’otadde enkyukakyuka mu mbeera y’obudde, byongedde okukifuula ekizibu okutuusa emmere ku bantu abagyetaaga mu nsi yonna. Ekizibu kino kyeyongedde nnyo, naddala mu nsi ezikyakula omuli abantu abangi ennyo abatasobola kufuna mmere ebamala.

  •   “Olutalo, enkyukakyuka mu mbeera y’obudde, n’ebbeeyi y’amafuta okwekanama, bigootaanyizza kaweefube w’okulima emmere emala n’okugituusa ku bagyetaaga.”—Byayogerwa António Guterres, Ssaabawandiisi w’Ekibiina ky’Amawanga Amagatte, Jjulaayi 17, 2023.

  •   “Abakugu bagamba nti ekya Russia okuva mu ndagaano y’okuguza amawanga amalala emmere, kijja kwongera nnyo ku kizibu ky’ebbula ly’emmere mu nsi ezitali bulungi mu byanfuna, naddala mu nsi eziri mu bukiikakkono bwa Afirika ne mu Buwalabu.”—Atalayar.com, Jjulaayi 23, 2023.

 Weetegereze ekyo Bayibuli ky’eyogera ku kizibu ky’ebbula ly’emmere ne ku biseera eby’omu maaso.

Bayibuli yayogera ku kizibu ky’ebbula ly’emmere

  •   Yesu yagamba nti: “Eggwanga lirirumba eggwanga, n’obwakabaka bulirumba obwakabaka, era walibaawo enjala.”Matayo 24:7.

  •   Ekitabo kya Bayibuli eky’Okubikkulirwa kyogera ku beebagazi b’embalaasi bana. Omu ku beebagazi b’embalaasi abo akiikirira entalo. Omwebagazi w’embalaasi amuvaako emabega akiikirira enjala. Ekyo kiraga nti ekiseera kyandituuse emmere n’eba nga ya kupima bupimi era nga ya buseere. Okubikkulirwa 6:5, 6 wagamba nti: “Ne ndaba era laba! embalaasi enzirugavu; era oyo eyali agituddeko yalina minzaani mu mukono gwe. Ne mpulira eddoboozi . . . nga ligamba nti: ‘Kilo emu ey’eŋŋaano ya ddinaali emu, ne kilo ssatu eza ssayiri za ddinaali emu.’”

 Obunnabbi buno obukwata ku bbula ly’emmere butuukirira mu kiseera kino Bayibuli ky’eyita ‘ennaku ez’enkomerero.’ (2 Timoseewo 3:1) Okumanya ebisingawo ebikwata ku “nnaku ez’enkomerero” n’abeebagazi b’embalaasi abana aboogerwako mu kitabo ky’Okubikkulirwa, laba vidiyo erina omutwe, Ensi Ekyuse Nnyo Okuva mu 1914 era soma n’ekitundu ekirina omutwe, “Abeebagazi b’Embalaasi Abana Be Baani?

Engeri Bayibuli gy’eyinza okukuyambamu

  •   Bayibuli erimu amagezi agasobola okukuyamba okwaŋŋanga embeera enzibu, gamba ng’ebbula ly’emmere n’ebbeeyi y’ebintu okwekanama. Laba agamu ku magezi ago mu kitundu ekirina omutwe, How to Live on Less.”

  •   Ate era Bayibuli etuwa essuubi nti embeera ejja kutereera. Bayibuli egamba nti ekiseera kijja kutuuka ‘wabeewo emmere nnyingi mu nsi,’ nga buli omu asobola okufuna emmere emumala. (Zabbuli 72:16) Okumanya ebisingawo ku kisuubizo ekyo ekiri mu Bayibuli n’ensonga lwaki osobola okukyesiga, soma ekitundu ekirina omutwe A Real Hope for a Better Tomorrow.”