BEERA BULINDAALA!
Amawanga Gasobola Okukolera Awamu Okuziyiza Enkyukakyuka mu Mbeera y’Obudde Eziviirako Obutyabaga obw’Amaanyi?—Bayibuli Ekyogerako Ki?
Ku Ssande nga 20 Noovemba, 2022, olukuŋŋaana lw’Ekibiina ky’Amawanga Amagatte olukwata ku nkyukakyuka mu mbeera y’obudde lwakomekkerezebwa. Wadde baatuuka ku nzikiriziganya ey’okuyamba ensi enjavu okwaŋŋanga ebizibu ebireetebwa enkyukakyuka mu mbeera y’obudde, bangi bagamba nti ekyo tekisobola kugonjoolera ddala kizibu ekyo.
“Nsiima nnyo ekisaliddwawo eky’okuterekawo ssente ez’okuyamba abo ababa bakoseddwa ebizibu ebireetebwa enkyukakyuka mu mbeera y’obudde,” bw’atyo António Guterres, omuwandiisi w’Ekibiina ky’Amawanga Amagatte, bwe yayogera nga 19 Noovemba, 2022. Yagattako nti: “Kya lwatu ekyo ku bwakyo tekimala . . . Ensi yaffe egeraageranyizibwa ku mulwadde omuyi.”
“Ensi eyolekedde okusaanawo olw’enkyukakyuka mu mbeera y’obudde.”—Bw’atyo Mary Robinson, eyaliko omukulembeze wa Ireland era eyaliko omukungu mu Kitongole ky’Amawanga Amagatte eky’Eddembe ly’Obuntu, bwe yayogera nga 20 Noovemba, 2022.
Abavubuka naddala beeraliikirivu nnyo olw’ekyo ekinaatuuka ku nsi yaffe mu biseera eby’omu maaso. Naye ensi zisobola okukolera awamu ne zigonjoola ekizibu ekyo ekiriwo? Bayibuli ekyogerako ki?
Amawanga okukolera awamu kinaagasobozesa okutuuka ku kiruubirirwa kyago?
Bayibuli eraga nti abantu ne bwe bafuba batya, tebasobola kugonjoolera ddala bizibu ebiriwo. Weetegereze ensonga lwaki:
“Ekyakyama tekisoboka kugololwa.”—Omubuulizi 1:15.
Amakulu: Gavumenti tezisobola kukola byonna bye zandyagadde olw’okuba abantu tebaatondebwa nga balina obusobozi obw’okufuga bantu bannaabwe. (Yeremiya 10:23) Amawanga ne bwe gakolera awamu, tegasobola kugonjoola bizibu ebiriwo mu nsi, ka gabe nga gafubye gatya.
“Kubanga abantu baliba beeyagala bokka, nga baagala nnyo ssente, . . . nga tebakkiriza kukkaanya.”—2 Timoseewo 3:2, 3.
Amakulu: Bayibuli yalagula nti abantu bangi mu kiseera kyaffe bandibadde beerowoozaako bokka era nga si beetegefu kukolera wamu na balala ku lw’obulungi bwa buli omu.
Ensonga lwaki twandibadde n’essuubi
Kyokka, ebiseera eby’omu maaso eby’ensi yaffe tebyesigamye ku ebyo abantu bye basuubiza. Katonda alonze omufuzi omulungi anaafuga ensi yonna, ng’ono ye Yesu Kristo. Bayibuli emwogerako bw’eti:
“Gavumenti eribeera ku kibegaabega kye. Aliyitibwa Omuwi w’Amagezi ow’Ekitalo, Katonda ow’Amaanyi, Kitaffe ow’Emirembe n’Emirembe, Omukulu ow’Emirembe.”—Isaaya 9:6, obugambo obuli wansi.
Yesu ye Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda, oba gavumenti ey’omu ggulu. (Matayo 6:10) Alina amaanyi, amagezi, era ayagala okulabirira ensi yaffe n’abo abagiriko. (Zabbuli 72:12, 16) Wansi w’obufuzi bwa gavumenti eyo, Yesu ajja kuzikiriza abo “aboonoona ensi” era aggyewo byonna ebiviiriddeko embeera y’obudde okwonooneka.—Okubikkulirwa 11:18; Isaaya 35:1, 7.
Okumanya ebisingawo ebikwata ku kumalirawo ddala ebyonoona embeera y’obudde, soma ekitundu ekirina omutwe, “Climate Change and Our Future—What the Bible Says.”