KAWEEFUBE OW’OKUYITA ABANTU KU KIJJUKIZO
Yesu Ajja Kumalawo Obwavu
Yesu bwe yali ku nsi yalaga abantu okwagala naddala abaali abaavu n’abaali mu nnaku. (Matayo 9:36) Yawaayo n’obulamu bwe ku lw’abalala. (Matayo 20:28; Yokaana 15:13) Mu kiseera ekitali kya wala, ajja kuddamu ayoleke okwagala gye bali ng’akozesa obuyinza bwe nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda, amalewo obwavu mu nsi yonna.
Bayibuli eraga ebyo Yesu by’ajja okukola:
“K’alwanirirenga abanaku mu bantu, alokolenga abaana b’abaavu.”—Zabbuli 72:4.
Tuyinza tutya okulaga nti tusiima ebyo byonna Yesu by’atukoledde n’ebyo by’ajja okutukolera? Mu Lukka 22:19, Yesu yagamba abagoberezi be okujjukiranga okufa kwe. Eyo ye nsonga lwaki buli mwaka ku lunaku Yesu lwe yafiirako, Abajulirwa ba Yakuwa bakuŋŋaana wamu okujjukira okufa kwe. Tukwaniriza okutwegattako nga tujjukira okufa kwa Yesu ku Ssande, Maaki 24, 2024.