Nyweza Enkolagana yo n’Abalala Kikuyambe Okukendeeza ekiwuubaalo—Engeri Bayibuli gy’Esobola Okukuyamba
Mu 2023, bakakensa mu by’obulamu baakiraba nti ekiwuubaalo kizibu kya maanyi nnyo ku bulamu era nga beetaaga okubaako kye bakolawo. Waliwo ekiyinza okukolebwa okumalawo ekizibu ekyo?
Omusawo ayitibwa Vivek Murthy, ow’omu Amerika yagamba nti: “Bwe tuba n’ekiwuubaalo ne tweyawula ku balala, kisobola okukosa obulamu bwaffe ne kitumalako n’essanyu. Naye waliwo kye tuyinza okukolawo. Kiki kye tuyinza okukola? Tuyinza okubaako ebintu ebitonotono bye tukola buli lunaku okunyweza enkolagana yaffe n’abalala.” a
Okweyawula ku balala si kye kyokka ekireetera omuntu okuba n’ekiwuubaalo. Abantu abamu bayinza okuwulira ekiwuubaalo wadde nga bali n’abalala. Ka kibe ki ekikuleetera okuwulira ekiwuubaalo, Bayibuli esobola okukuyamba. Erimu amagezi agasobola okukuyamba okunyweza enkolagana yo n’abalala era ng’ekyo kisobola okukendeeza ku kiwuubaalo ky’olina.
Emisingi gya Bayibuli egisobola okutuyamba
Ba n’empuliziganya ennungi n’abalala. Kino kizingiramu okubuulira abalala engeri gye twewuliramu n’okuwuliriza abalala obulungi. Bw’okiraga nti ofaayo ku balala, enkolagana yo nabo ejja kweyongera.
Omusingi gwa Bayibuli: ‘Temufaayo ku byammwe byokka naye mufeeyo ne ku by’abalala.’—Abafiripi 2:4.
Kola omukwano n’abantu ab’enjawulo. Ba mwetegefu okukola omukwano n’abantu abato oba abakulu ku ggwe, oba abaakulira mu mbeera ez’enjawulo n’obuwangwa obw’enjawulo.
Omusingi gwa Bayibuli: “Mugaziwe mu mitima gyammwe.”—2 Abakkolinso 6:13.
Okumanya ebisingawo ku ngeri gy’osobola okunyweza enkolagana yo n’abalala, soma ekitundu “Satisfying Our Hunger for Friendship.”
a Our Epidemic of Loneliness and Isolation: The U.S. Surgeon General’s Advisory on the Healing Effects of Social Connection and Community, 2023.