Bayibuli Eyogera Ki ku Bbula ly’Emmere Eririwo Leero?
“Enjala ejja kuggweerawo ddala.” Ekyo kye kiruubirirwa abakulembeze b’ensi kye baagala okutuukako, okusobola okugonjoola ekimu ku bizibu eby’amaanyi ebiriwo leero, nga kye kizibu ky’enjala. a Naye enjala eyinza okuggwerawo ddala mu nsi? Bayibuli ekyogerako ki?
Bayibuli yalagula ku bbula ly’emmere eririwo leero
Bayibuli eraga nti mu kiseera kyaffe, ky’eyita ‘ennaku ez’enkomerero,’ wandibaddewo ebbula ly’emmere. (2 Timoseewo 3:1) Katonda si y’avunaanyizibwa ku bbula ly’emmere eririwo, naye yatutegeeza nti ekyo kyandibaddewo. (Yakobo 1:13) Weetegereze obunnabbi buno obw’emirundi ebiri obuli mu Bayibuli.
“Walibaawo enjala . . . mu bifo ebitali bimu.” (Matayo 24:7) Obunnabbi obwo bulaga nti wandibaddewo enjala mu bifo bingi. Lipoota eyakolebwa gye buvuddeko awo, ekwata ku bungi bw’emmere eriwo n’engeri gy’egabanyizibwamu egamba nti: “Ekizibu ky’ebbula ly’emmere ennungi era emala, kyeyongera bweyongezi mu nsi.” b Abantu bukadde na bukadde mu nsi nnyingi tebafuna mmere gye beetaaga. Eky’ennaku, bangi ku bo bafa enjala.
“Laba! embalaasi enzirugavu; era oyo eyali agituddeko yalina minzaani mu mukono gwe.” (Okubikkulirwa 6:5) Mu bunnabbi obwo, embalaasi n’oyo agituddeko, bikiikirira enjala eyandibaddewo mu nnaku ez’enkomerero. c Minzaani z’akutte mu mukono gwe, ziraga nti emmere yandibadde ntono nnyo era nga ya kupima bupimi. Embalaasi eyo bwe yali eyitawo, waliwo eddoboozi eryawulirwa nga ligamba nti ebisale by’emmere byandirinnye nnyo, era nga n’abantu bagambibwa okukekkereza emmere. (Okubikkulirwa 6:6) Ekyo kyoleka bulungi embeera eriwo mu nsi leero. Abantu bukadde na bukadde tebasobola kufuna oba kugula mmere ennungi era ebamala.
Engeri ekizibu ky’ebbula ly’emmere gye kinaggibwawo
Abakugu bagamba nti emmere eriwo mu nsi esobola okumala abantu bonna abagiriko. Kati olwo, biki ebiviirako ebbula ly’emmere? Era kiki Yakuwa d Katonda waffe ky’anaakola okumalawo ebizibu ebyo?
Ekizibu: Gavumenti z’abantu tezisobola kumalawo bwavu oba obutali bwenkanya obuviirako abantu obutafuna mmere ebamala.
Engeri gye kinaagonjoolwamu: Gavumenti ya Katonda, oba Obwakabaka bwe, y’ejja okudda mu kifo kya gavumenti z’abantu. (Danyeri 2:44; Matayo 6:10) Leero, abantu bangi abaavu tebasobola kufuna mmere ebamala. Naye embeera tejja kuba bw’etyo ng’Obwakabaka bwa Katonda bwe bufuga ensi. Bayibuli eyogera bw’eti ku Yesu Kristo, Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda: “Anaanunulanga abaavu abawanjaga, n’abanaku era na buli atalina amuyamba. . . . Wanaabangawo emmere ey’empeke nnyingi mu nsi; eneeyitiriranga obungi ku ntikko z’ensozi.”—Zabbuli 72:12, 16.
Ekizibu: Ebintu bingi byonoonebwa mu ntalo era n’eby’enfuna ne bigootaana. Ekyo kikifuula kizibu okulima emmere n’okugituusa ku bagyetaaga.
Engeri gye kinaagonjoolwamu: “[Yakuwa] amalawo entalo mu nsi yonna. Amenya emitego gy’obusaale era amenyaamenya amafumu; ayokya amagaali ag’olutalo.” (Zabbuli 46:9) Katonda ajja kusaanyaawo eby’okulwanyisa, era azikirize n’abo abaleetawo entalo. Bwe kityo, buli omu ajja kuba asobola okufuna emmere gye yeetaaga. Bayibuli egamba nti: “Abatuukirivu bajja kumeruka, era emirembe ginaabanga mingi nnyo.”—Zabbuli 72:7.
Ekizibu: Embeera y’obudde embi n’obutyabaga byonoona ebirime era ne bitta n’ebisolo.
Engeri gye kinaagonjoolwamu: Katonda ajja kuggyawo obutyabaga, era n’embeera y’obudde ejja kuba nnungi. Ekyo kijja kusobozesa emmere okubaawo mu bungi. Bayibuli egamba nti: “[Yakuwa] akkakkanya omuyaga; amayengo g’ennyanja ne gateeka. . . . Eddungu alifuula bidiba bya mazzi, n’ensi enkalu agifuula nsulo z’amazzi. Omwo mw’assa abalumwa enjala . . . Basiga ensigo mu nnimiro ne basimba n’ennimiro z’emizabbibu ebivaamu ebibala ebingi ennyo.”—Zabbuli 107:29, 35-37.
Ekizibu: Abantu ab’omululu n’abalyi b’enguzi batunda emmere etali nnungi oba bagiremesa okutuuka ku abo ababa bagyetaaga.
Engeri gye kinaagonjoolwamu: Obwakabaka bwa Katonda bujja kuzikiriza abantu ab’omululu n’abalyi b’enguzi. (Zabbuli 37:10, 11; Isaaya 61:8) Bayibuli eyogera bw’eti ku Yakuwa Katonda: ‘Akakasa nti abakumpanyizibwa balagibwa obwenkanya, awa abayala emmere.’—Zabbuli 146:7.
Ekizibu: Ekitundu kimu kya kusatu eky’emmere mu nsi yonna, eyonoonebwa oba esuulibwa buli mwaka.
Engeri gye kinaagonjoolwamu: Ng’Obwakabaka bwa Katonda bufuga, emmere ejja kugabanyizibwamu bulungi. Yesu bwe yali ku nsi, teyayonoonanga mmere. Ng’ekyokulabirako, lumu yaliisa abantu abasukka mu 5,000. Oluvannyuma yagamba abayigirizwa be nti: “Mukuŋŋaanye obutundutundu obufisseewo, waleme kubaawo kyonoonebwa.”—Yokaana 6:5-13.
Olw’okuba Obwakabaka bwa Katonda bujja kuggyawo ebizibu ebiviirako ebbula ly’emmere, wajja kubaawo emmere ennungi mu bungi era ng’emala abantu bonna. (Isaaya 25:6) Okumanya ddi Obwakabaka bwa Katonda lwe bulituukiriza ekyo, soma ekitundu ekirina omutwe, “Obwakabaka bwa Katonda Bulitandika Ddi Okufuga Ensi?”
a Ekiruubirirwa ekirina okutuukibwako mu 2030 ekyassibwako omukono ensi zonna eziri mu Kibiina ky’Amawanga Amagatte mu 2015.
b Lipoota eyakolebwa aba Food and Agriculture Organization of the United Nations, International Fund for Agricultural Development, United Nations Children’s Fund, United Nations World Food Programme, ne World Health Organization.
c Okumanya ebisingawo ebikwata ku beebagazi b’embalaasi bonna abana aboogerwako mu kitabo ky’Okubikkulirwa, soma ekitundu ekirina omutwe, “Abeebagazi b’Embalaasi Abana Be Baani?”
d Yakuwa lye linnya lya Katonda. (Zabbuli 83:18) Laba ekitundu ekirina omutwe, “Yakuwa y’Ani?”