Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

BEERA BULINDAALA!

Lwaki Ebyobufuzi Bireetawo Enjawukana za Maanyi mu Bantu?—Bayibuli Ekyogerako Ki?

Lwaki Ebyobufuzi Bireetawo Enjawukana za Maanyi mu Bantu?—Bayibuli Ekyogerako Ki?

 Ensi nnyingi nnyo zirimu enjawukana mu by’obufuzi. Okusinziira ku kunoonyereza okwakolebwa Pew Research Center mu 2022, “abantu abakulu ebitundu nkaaga mu bitaano ku buli kikumi mu nsi 19 baagamba nti mu nsi zaabwe eriyo enjawukana nnyingi nnyo mu bantu abawagira ebibiina by’obufuzi eby’enjawulo.”

 Okirabye nti enjawukana mu by’obufuzi zeeyongedde mu kitundu gy’obeera? Lwaki kiri bwe kityo? Waliwo ekiyinza okumalawo ekizibu ekyo? Weetegereze Bayibuli ky’egamba.

Ekiviirako enjawukana

 Bayibuli yalagula nti mu kiseera kyaffe, ekyogerwako ‘ng’ennaku ez’enkomerero,’ abantu bangi bandyolese engeri ezitandisobozesezza bumu kubeerawo.

  •   “Mu nnaku ez’enkomerero, ebiseera biriba bizibu nnyo. Kubanga abantu baliba beeyagala bokka, . . . nga tebakkiriza kukkaanya.”—2 Timoseewo 3:1-3.

 Wadde nga gavumenti nnyingi zifuba nnyo okutereeza embeera, ziremereddwa. Abantu abalina endowooza ezaawukana bakisanga nga kizibu nnyo, kabe kasinge nga tekisoboka, okukolera awamu okugonjoola ebizibu. Bino byonna bikakasa ekyo Bayibuli kye yayogera emyaka mingi emabega.

  •   ‘Omuntu abadde n’obuyinza ku munne n’amuyisa bubi.’—Omubuulizi 8:9.

 Kyokka Bayibuli eraga ekyo ekisobola okutereeza embeera—nga ye gavumenti ekulemberwa omuntu asobola okumalawo ebizibu ebifumbekedde ensi.

Omufuzi omulungi afaayo ku bantu

 Bayibuli etubuulira omufuzi asobola okugonjoola ebizibu ebiriwo: Omufuzi oyo ye Yesu Kristo. Alina obusobozi era ayagala nnyo okuleetawo obumu n’emirembe ku nsi.

  •   “Mu nnaku ze abatuukirivu bajja kumeruka, era emirembe ginaabanga mingi nnyo.”—Zabbuli 72:7.

  •   “Amawanga gonna ganaamuweerezanga.”—Zabbuli 72:11.

 Yesu mufuzi mulungi kubanga afaayo era ayagala nnyo okuyamba abantu, naddala abo abanyigirizibwa.

  •   “Anaanunulanga abaavu abawanjaga, n’abanaku era na buli atalina amuyamba. Anaasaasiranga abanaku n’abaavu, era anaawonyanga obulamu bw’abaavu.  Anaabawonyanga okunyigirizibwa.”—Zabbuli 72:12-14.

 Yiga ebisingawo ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda, gavumenti ey’omu ggulu efugibwa Yesu. Laba engeri gy’oyinza okuganyulwa mu bufuzi bwayo era n’engeri gy’oyinza okugiwagiramu.