Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

alashi/DigitalVision Vectors via Getty Images

BEERA BULINDAALA!

Lwaki Waliwo Obukyayi Bungi?—Kiki Bayibuli ky’egamba?

Lwaki Waliwo Obukyayi Bungi?—Kiki Bayibuli ky’egamba?

 Amawulire gajjudde abantu aboogera ebintu eby’oleka obukyayi, abakola ebikolwa eby’obukyayi, okusosolagana mu mawanga n’entalo.

  •   “Abantu boogera ebintu eby’obukyayi ku mikutu emigattabantu okusinga bwe kyali kibadde olw’obukuubagano obuliwo wakati wa Isirayiri ne Gaaza n’olw’abantu abatumbula ebikolwa eby’obukyayi n’eby’obukambwe.”—The New York Times, Noovemba 15, 2023.

  •   “Okuva nga 7 Okitobba, ebikolwa eby’obukambwe n’okwogera mu ngeri ey’obukyayi byeyongedde mu nsi olw’obusosoze.”—Dennis Francis, pulezidenti wa United Nations General Assembly, Noovemba 3, 2023.

 Entalo, ebikolwa eby’obukambwe, n’okwogera mu ngeri eyoleka obukyayi tebitandise mu kiseera kino. Mu butuufu, Bayibuli bw’eba eyogera ku bantu abamu abaaliwo mu biseera eby’edda egamba nti: “Ebigambo byabwe eby’obukambwe babireega ng’obusaale” era beenyigira mu ntalo ne mu bikolwa eby’obukambwe. (Zabbuli 64:3; 120:7; 140:1) Kyokka Bayibuli eraga nti obukyayi bwe tulaba leero bulina kye butegeeza.

Obukyayi Bulaga Ekiseera Kye Tulimu

 Bayibuli eyogera ku nsonga bbiri lwaki waliwo obukyayi bungi leero.

  1.  1. yayogera ku kiseera ‘okwagala kw’abasinga obungi lwe kwandiwoze.’ (Matayo 24:12) Mu kifo ky’okulaŋŋana okwagala, abantu bandyeyisizza mu ngeri eraga obukyayi.—2 Timoseewo 3:1-5.

  2.  2. Sitaani Omulyolyomi aleetedde abantu okwoleka obukyayi bungi. Bayibuli egamba nti: “Ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi.”—1 Yokaana 5:19; Okubikkulirwa 12:9, 12.

 Wadde kiri kityo, Bayibuli eraga nti Katonda anaatera okuggyawo ebyo ebiviirako abantu okuba n’obukyayi. Ate era ajja kuggyawo obulumi obuleetebwa olw’obukyayi. Bayibuli etuwa essuubi nti:

  •   Katonda “Alisangula buli zziga mu maaso gaabwe era okufa tekulibaawo nate, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba, newakubadde obulumi. Ebintu eby’olubereberye biriba biweddewo.”—Okubikkulirwa 21:4.