Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

BEERA BULINDAALA!

Emiwendo gy’Ebintu Okulinnya mu Nsi Yonna—Bayibuli Ekyogerako Ki?

Emiwendo gy’Ebintu Okulinnya mu Nsi Yonna—Bayibuli Ekyogerako Ki?

 “Eby’enfuna by’ensi yonna byeraliikiriza nnyo,” bw’atyo akulira World Bank Group bwe yagamba mu lipoota yaabwe eya Jjuuni 2022. “Ku luno ng’ogyeeko emiwendo gy’ebintu okulinnya, n’abantu tebalina ssente zimala kugula bintu.”

 “Emiwendo gy’amafuta n’emmere girinnye nnyo n’ekiviirako abantu abali mu nsi enjavu okuyisibwa obubi ennyo,” bwe kityo ekitongole ekiyitibwa International Monetary Fund bwe kyagamba.

 Bayibuli etuyamba okutegeera lwaki waliwo ebizibu ng’ebyo mu by’enfuna, engeri gye tuyinza okubyaŋŋangamu, era etuwa n’essuubi nti ebizibu ebyo bijja kuggwaawo.

Emiwendo gy’ebintu okulinnya mu “nnaku ez’enkomerero.”

  •   Ekiseera kye tulimu Bayibuli ekiyita ‘ennaku ez’enkomerero.’—2 Timoseewo 3:1.

  •   Yesu yagamba nti “ebintu ebitiisa,” oba ebyeraliikiriza, byandibaddewo mu kiseera kino. (Lukka 21:11) Emiwendo okulinnya kireetedde abantu bangi okutya. Beeraliikirivu era tebamanyi obanga banaasobola okuyimirizaawo amaka gaabwe.

  •   Ekitabo ky’Okubikkulirwa kyalagula nti emiwendo gy’ebintu gyandirinnye mu kiseera kino. “Ne mpulira ng’eddoboozi eryogera nti, ‘Ekigero kimu eky’eŋŋaano, kya mpeera ya lunaku lumu, n’ebigero bisatu ebya bbaale bya mpeera ya lunaku.’”—Okubikkulirwa 6:6, Bayibuli ey’Oluganda eya 2003.

 Okumanya ebisingawo ku “nnaku ez’enkomerero” n’obunnabbi obuli mu kitabo ky’Okubikkulirwa, laba vidiyo erina omutwe Ensi Ekyuse Nnyo Okuva mu 1914 era soma n’ekitundu “Abeebagazi b’Embalaasi Abana Be Baani?

Ekinaagonjoola ebizibu byonna eby’eby’enfuna

  •   “Balizimba ennyumba ne bazibeeramu, era balisimba ennimiro z’emizabbibu ne balya ebibala byamu. Tebalizimba omulala n’abeeramu, era tebalisimba abalala ne balya.”—Isaaya 65:21, 22.

  •   “Wanaabangawo emmere ey’empeke nnyingi mu nsi; eneeyitiriranga obungi ku ntikko z’ensozi.”—Zabbuli 72:16.

  •   “‘Olw’okuba abanaku banyigirizibwa, olw’okuba abaavu basinda, nja kusituka mbeeko kye nkola,’ Yakuwa bw’agamba.”—Zabbuli 12:5. a

 Katonda anaatera okumalawo obutali bwenkanya mu by’enfuna, si mu nsi emu yokka wabula mu nsi yonna. Okulaba engeri gy’anaakikolamu laba ekitundu ekirina omutwe Is a Fair Economic System Possible?

 Ne mu kiseera kino ng’emiwendo gy’ebintu girinnye, Bayibuli esobola okukuyamba. Mu ngeri ki? Erimu amagezi amalungi agatuyamba okukozesa obulungi ssente. (Engero 23:4, 5; Omubuulizi 7:12) Okumanya ebisingawo, soma ekitundu ekirina omutwe Kozesa Bulungi Ssente Zo ne How to Live on Less.”

a Yakuwa lye linnya lya Katonda.—Zabbuli 83:18.