Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

BEERA BULINDAALA!

Okunoonya Obubudamu—Abantu Bangi Nnyo Badduse mu Ukraine

Okunoonya Obubudamu—Abantu Bangi Nnyo Badduse mu Ukraine

 Nga 24 Febwali, 2022, Russia yalumba Ukraine. Ekyo kyateeka obulamu bw’abantu mu kabi era ne kiviirako abantu bangi okudduka mu kitundu awali olutalo. a

 “Bbomu zaali zibwatuka buli wamu. Entiisa yali ya maanyi nnyo. Bwe twamanya nti waaliwo eggaali z’omuka ezaali ziggya abantu mu kitundu awaali akabi, twasalawo okugenda. Twatwala biwandiiko, ddagala, mazzi na bya kulya byokka; ebintu ebirala byonna twabireka. Twatambula okugenda awaali eggaali y’omuka ng’eno bbomu bwe zibwatuka.”—Nataliia, okuva mu Kharkiv, Ukraine.

 “Twali tulowooza nti tewajja kubaawo lutalo. Nnawulira okubwatuka kwa bbomu mu bitundu ebimu eby’ekibuga, era amadirisa gaali gakankana. Nnasalawo okugenda era nnatwala ebyo byokka ebyetaagisa. Nnava awaka ku ssaawa 2:00 ez’oku makya ne nninnya eggaali y’omuka eyantuusa mu Lviv era oluvannyuma ne nninnya bbaasi eyantuusa mu Poland.”—Nadija, okuva mu Kharkiv, Ukraine.

Ebiri mu kitundu kino

 Kiki ddala ekiviiriddeko abanoonyi b’obubudamu okweyongera mu Ukraine?

 Russia bwe yalumba Ukraine abantu bangi badduka okuva mu Ukraine. Kyokka, Bayibuli eraga ensonga endala eziviirako bangi okufuuka abanoonyi b’obubudamu:

  •   Gavumenti z’abantu mu nsi yonna ziremereddwa okukola ku bizibu by’abantu. Abo abali mu buyinza emirundi mingi bakozesa obuyinza bwabwe okunyigiriza abantu.—Omubuulizi 4:1; 8:9.

  •   Sitaani Omulyolyomi, “omufuzi w’ensi,” alina obuyinza ku bantu era Bayibuli egamba nti: “Ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi.”—Yokaana 14:30; 1 Yokaana 5:19.

  •   Ng’oggyeko ebizibu abantu bye babadde nabyo okumala ekiseera ekiwanvu, Bayibuli era yalagula nti: “Mu nnaku ez’enkomerero, ebiseera biriba bizibu nnyo.” (2 Timoseewo 3:1) Ate era, ennaku zino ez’enkomerero zandibaddemu entalo, obutyabaga, enjala, n’endwadde ez’amaanyi—ebintu ebiviirako abantu okufuuka abanoonyi b’obubudamu.—Lukka 21:10, 11.

 Abanoonyi b’obubudamu bayinza kufuna wa essuubi?

 Bayibuli eraga nti Omutonzi waffe Yakuwa, b ayagala nnyo era asaasira abanoonyi b’obubudamu. (Ekyamateeka 10:18) Asuubiza okuggyawo byonna ebiviirako abantu okufuuka abanoonyi b’obubudamu ng’ayitira mu gavumenti ye ey’omu ggulu eyitibwa Obwakabaka bwa Katonda, ejja okudda mu kifo kya gavumenti z’abantu. (Danyeri 2:44; Matayo 6:10) Yakuwa ajja kukozesa Obwakabaka bwe okuggyawo Sitaani Omulyolyomi. (Abaruumi 16:20) Obwakabaka obwo bujja kufuga ensi yonna, era tewajja kubaawo nsalo zaawulayawulamu bantu. Abantu bonna bajja kuba bumu. Tewali n’omu aliddamu kudduka mu maka ge kubanga Bayibuli essuubiza nti: “Buli muntu alituula wansi w’omuzabbibu gwe ne wansi w’omutiini gwe, era tewalibaawo n’omu abatiisa, kubanga akamwa ka Yakuwa ow’eggye ke kakyogedde.”—Mikka 4:4.

 Abanoonyi b’obubudamu be tulaba leero tebajja kubaawo mu Bwakabaka bwa Katonda. Yakuwa ajja kukozesa Obwakabaka bwe okuggyawo ebintu byonna ebiviirako abantu okufuuka abanoonyi b’obubudamu. Lowooza ku bino wammanga:

 Bayibuli esobola okuyamba abanoonyi b’obubudamu leero?

 Yee. Ng’oggyeko okuwa abanoonyi b’obubudamu essuubi ekkakafu, Bayibuli esobola n’okubayamba okwaŋŋanga ebizibu bye balina kati.

 Omusingi gwa Bayibuli: “Atalina bumanyirivu akkiriza buli kye bamugamba, naye omuntu ow’amagezi afumiitiriza ku buli ky’agenda okukola.”—Engero 14:15.

 Amakulu: Lowooza ku mbeera enzibu z’oyinza okwolekagana nazo era omanye n’engeri gy’oyinza okuzeekuumamu. Weekuume abamenyi b’amateeka abayinza okukozesa embeera enzibu abanoonyi b’obubudamu gye babaamu okubabba n’okubabuzaabuza.

 Omusingi gwa Bayibuli: “Bwe tunaabanga n’eby’okulya n’eby’okwambala tunaabanga bamativu n’ebyo.”—1 Timoseewo 6:8.

 Amakulu: Ebirowoozo tobimalira ku bya bugagga. Bw’oba omumativu n’ebyo bye weetaaga, ojja kuba musanyufu.

 Omusingi gwa Bayibuli: “Kale, ebintu byonna bye mwagala abalala okubakola, nammwe bye muba mubakola”—Matayo 7:12.

 Amakulu: Beera mugumiikiriza era beera wa kisa. Bw’oba n’engeri ezo, kiviirako ab’omu kitundu kyo okukussaamu ekitiibwa n’okukwagala.

 Omusingi gwa Bayibuli: “Temukolanga muntu n’omu kibi olw’okuba abakoze ekibi.”—Abaruumi 12:17.

 Amakulu: Teweesasuza ng’omuntu akukoze ekibi. Ekyo kyongera kusajjula mbeera.

 Omusingi gwa Bayibuli: “Nnyinza byonna olw’oyo ampa amaanyi.”—Abafiripi 4:13.

 Amakulu: Kulembeza Katonda mu bulamu bwo era mutuukirirenga mu kusaba. Ajja kukuwa amaanyi ge weetaaga okwaŋŋanga embeera enzibu.

 Omusingi gwa Bayibuli: “Temweraliikiriranga kintu kyonna, naye mu buli nsonga yonna mutegeezenga Katonda bye mwetaaga, nga musabanga, nga mwegayiriranga, era nga mwebazanga; era emirembe gya Katonda egisingira ewala okutegeera kwonna gijja kukuuma emitima gyammwe n’ebirowoozo byammwe.”—Abafiripi 4:6, 7.

 Amakulu: Saba Katonda akuwe emirembe mu mutima k’obe nga weesanze mu mbeera ki. Laba ekitundu “Philippians 4:6, 7—‘Do Not Be Anxious About Anything.’” (Abafiripi 4:6, 7—‘Teweeraliikirira Kintu Kyonna.’)

a Nga wayise olunaku lumu oluvannyuma lwa Ukraine okulumbibwa, ekitongole ekiyitibwa United Nations High Commissioner for Refugees (UNHCR) kyagamba nti embeera eyali ezzeewo yali mbi nnyo. Oluvannyuma lw’ennaku kkumi na bbiri zokka, abanoonyi b’obubudamu abasukka mu bukadde bubiri badduka mu Ukraine ne bagenda mu nsi ez’omuliraano, ate abalala akakadde kamu baali babundabunda mu nsi yaabwe.

b Yakuwa lye linnya lya Katonda. (Zabbuli 83:18) Laba ekitundu “Yakuwa y’Ani?