Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

AspctStyle/stock.adobe.com

KAWEEFUBE OW’OKUYITA ABANTU KU KIJJUKIZO

Yesu Ajja Kumalawo Entalo

Yesu Ajja Kumalawo Entalo

 Yesu bwe yali ku nsi yayagala nnyo abantu n’atuuka n’okubafiiririra. (Matayo 20:28; Yokaana 15:13) Mu kiseera ekitali kya wala, ajja kuddamu ayoleke okwagala gye bali ng’akozesa obuyinza bwe nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda, ‘amalewo entalo mu nsi yonna.’—Zabbuli 46:9.

 Weetegereze ebyo Bayibuli by’eyogerako Yesu by’ajja okukola:

  •    “Anaanunulanga abaavu abawanjaga, n’abanaku era na buli atalina amuyamba. Anaasaasiranga abanaku n’abaavu, era anaawonyanga obulamu bw’abaavu. Anaabawonyanga okunyigirizibwa era n’ebikolwa eby’obukambwe.”—Zabbuli 72:12-14.

 Tuyinza tutya okulaga nti tusiima ebyo byonna Yesu by’atukoledde n’ebyo by’ajja okutukolera? Mu Lukka 22:19, Yesu yagamba abagoberezi be okujjukiranga okufa kwe. Eyo ye nsonga lwaki buli mwaka ku lunaku Yesu lwe yafiirako, Abajulirwa ba Yakuwa bakuŋŋaana wamu okujjukira okufa kwe. Tukwaniriza okutwegattako nga tujjukira okufa kwa Yesu ku Ssande, Maaki 24, 2024.

Laba awanaabeera Ekijjukizo