Vidiyo Ezikwata ku Katabo, Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza

Manya engeri y’okusoma n’okuyigiriza obulungi mu lujjudde.

ESSOMO 1

Ennyanjula Ennungi

Oyinza otya okuleetera abakuwuliriza okwesunga by’ogenda okwogera?

ESSOMO 2

Okwogera ng’Anyumya

Oyinza otya okuleetera abakuwuliriza obutabaamu kutya ng’oyogera nabo?

ESSOMO 3

Okukozesa Ebibuuzo

Oyinza otya okukozesa ebibuuzo okuyamba abawuliriza okugoberera by’oyogera, okubaagazisa okwongera okuwuliriza, n’okuggumiza ensonga enkulu?

ESSOMO 4

Okwanjula Ebyawandiikibwa

Biki by’oyinza okukola okuyamba abakuwuliriza okuganyulwa mu byawandiikibwa by’oba ogenda okubasomera?

ESSOMO 5

Okusoma Obulungi

Biki ebisobola okukuyamba okusoma ekyo kyennyini ekiwandiikiddwa mu ddoboozi eriwulikika?

ESSOMO 6

Okunnyonnyola Ebyawandiikibwa

Kiki ky’olina okukola oluvannyuma lw’okusoma ekyawandiikibwa osobole okuyamba abakuwuliriza okutegeera ensonga lwaki osomye ekyawandiikibwa ekyo?

ESSOMO 7

Ebituufu era Ebyesigika

Oyinza otya okukakasa nti amazima toganyoolanyoola?

ESOMO 8

Ebyokulabirako Ebiyigiriza

Okufaananako Omuyigiriza Omukulu, oyinza otya okukozesa obulungi ebyokulabirako?

ESSOMO 9

Okukozesa Ebintu Ebirabwako

Oyinza otya okukozesa ebifaananyi oba ebintu ebirala ebirabwako okuyamba abakuwuliriza okutegeera ensonga enkulu?

ESSOMO 10

Okukyusakyusa mu Ddoboozi

Okukyusakyusa mu ddoboozi kuyinza kukuyamba kutya okwogera mu ngeri etegeerekeka n’okuleetera abakuwuliriza okukwatibwako?

ESSOMO 11

Okwogera n’Ebbugumu

Oyinza otya okwoleka ebbugumu ng’oyogera osobole okuleetera abakuwuliriza okubaako kye bakolawo?

ESSOMO 12

Okwoleka Omukwano n’Ekisa

Oyinza otya okwoleka omukwano n’ekisa ng’oyogera?

ESSOMO 13

Okulaga Omuganyulo

Oyinza otya okuyigiriza abakuwuliriza ne bategeera bulungi omuganyulo gw’ebyo by’oyogerako ne babaako kye bakolawo?

ESSOMO 14

Okuggyayo Ensonga Enkulu

Yamba abakuwuliriza okussaayo omwoyo, okutegeera n’okujjukira by’oyogera ng’oggyayo bulungi ensonga enkulu.

ESSOMO 15

Okwogera nga Weekakasa

Oyinza otya okwogera nga weekakasa ng’owa emboozi oba nga weenyigira mu kubuulira?

ESSOMO 16

Ebizimba era Ebizzaamu Amaanyi

Bintu ki ebisatu ebinaakuyamba okwogera mu ngeri ezimba era ezzaamu amaanyi?

ESSOMO 17

Ebitegeerekeka eri Abalala

Biki by’olina okwewala ng’ogezaako okuyamba abakuwuliriza okutegeera amakulu g’ebyo by’oyogera?

ESSOMO 18

Ebiganyula Abakuwuliriza

Oyinza otya okuleetera abakuwuliriza okufumiitiriza n’okuwulira nti balina ekintu eky’omugaso kye bayize?

ESSOMO 19

Okufuba Okutuuka ku Mutima

Oyinza otya okuleetera abakuwuliriza okwagala okukola ebirungi?

ESSOMO 20

Okufundikira Obulungi

Kiruubirirwa ki kye wandibadde nakyo ng’ofundikira, k’obe ng’oyigiriza mu kibiina oba ng’obuulira?

Era Oyinza Okwagala Okusoma Ebitundu Bino

EBITABO N’OBUTABO

Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza

Akatabo kano kategekeddwa okukuyamba okulongoosa mu ngeri gy’osomamu, gy’oyogeramu, ne gy’oyigirizaamu.