OLUYIMBA 103
Abasumba Birabo
-
1. Yakuwa ’taddewo ’basumba
Balunde ’ndiga ze.
Bafuba nnyo ’kututeerawo
’Kyokulabirako.
(CHORUS)
Tubataddemu obwesige;
Beesigwa; ba mazima.
Ekisibo bakifaako nnyo;
Tusiime bye bakola.
-
2. ’Basumba abo batwagala;
Batulumirirwa.
Bwe tubaako n’ekituluma,
Batubudaabuda.
(CHORUS)
Tubataddemu obwesige;
Beesigwa; ba mazima.
Ekisibo bakifaako nnyo;
Tusiime bye bakola.
-
3. Batuyamba; batuwabula
Tuleme kuwaba
’Kuva mu kkubo lya Katonda;
Tubeere beesigwa.
(CHORUS)
Tubataddemu obwesige;
Beesigwa; ba mazima.
Ekisibo bakifaako nnyo;
Tusiime bye bakola.
(Laba ne Is. 32:1, 2; Yer. 3:15; Yok. 21:15-17; Bik. 20:28.)