OLUYIMBA 104
Omwoyo Omutukuvu Kirabo Katonda ky’Atuwa
-
1. Yakuwa oli musaasizi nnyo;
Osinga emitima gyaffe.
Tutikkule emigugu gyaffe;
’Mwoyo gwo ’mutukuvu gutuwe.
-
2. Twonoona mu maaso go, Kitaffe;
Emirundi mingi tusobya.
Tukwegayirira otuwenga
Omwoyo gwo gutuluŋŋamyenga.
-
3. Bwe tuba tuweddemu amaanyi,
Omwoyo gwo gutuzza buggya;
Tusab’o gutuwenga bulijjo
Kubanga tugwetaagira ddala.
(Laba ne Zab. 51:11; Yok. 14:26; Bik. 9:31.)