OLUYIMBA 106
Okukulaakulanya Okwagala
-
1. Tusaba Katonda ’tuyambe
Nga tufuba ’kkopp’e ngeri ze;
Gye tusing’o kwagal’o kkoppa
Kwe kwagala okwo kw’alina.
’Bitone byaffe bibe bingi,
’Watali kwagala, bya busa.
Tufub’o kwolek’o kwagala
Mu bintu byonna bye tukola.
-
2. Okwagala kwolek’e kisa
Era kufaayo ku balala.
Tekubaako gwe kunyiigira;
Kusonyiwa abatunyiiza.
’Kwagala kugumiikiriza;
Kwetikka emigugu gyonna.
Kugumira ebintu byonna;
’Kwagala tekulemererwa.
(Laba ne Yok. 21:17; 1 Kol. 13:13; Bag. 6:2.)