OLUYIMBA 107
Ekyokulabirako kya Katonda eky’Okwagala
-
1. Okwagala kwa Kitaffe Yakuwa,
Kwa maanyi nnyo ddala.
Kweyolekera mu byonna by’akola,
Era kino tukiraba.
Yeefiiriza nnyo n’awaayo ’Mwana we
Gw’ayagal’e nnyo, okufa ku lwaffe.
’Kwagala okwo kwe kusingiridde.
’Kwagala kwe kwa nnamaddala.
-
2. Bwe tumukoppa okwagala kwaffe
Kubeera kwa maanyi;
Kutuleetera okufaayo ennyo
Ku baganda baffe bonna.
Tetusobola kwagala Katonda
Bwe tutaagala ba luganda bonna.
Abatunyiiza tubasonyiwenga.
Kwe kwagala kw’ab’oluganda.
-
3. Okwagala kwe kutusobozesa
Okuba obumu.
Katonda waffe atukubiriza
Okukuuma ’bumu bwaffe.
Twagalanenga; tuyambaganenga.
Ekigambo kye kituwabulenga.
Ffenna awamu tutambulirenga
Mu kkub’e ryo ery’okwagala.
(Laba ne Bar. 12:10; Bef. 4:3; 2 Peet. 1:7.)