OLUYIMBA 2
Erinnya Lyo Ggwe Yakuwa
-
1. Ggwe Katonda omu
Wekka ow’amazima,
Nnyini butonde bwonna;
’Linnya lyo Yakuwa.
Twesiimye nnyo ddala
’Kuba nti tuli babo.
Tulangirira wonna,
’Kitiibwa ky’olina.
(CHORUS)
Yakuwa, Yakuwa,
Tewali Katonda
Alinga ggw’eyo mu ggulu
Oba wano ku nsi.
Ggwe wekka Ayinza Byonna;
Ka bonna bamanye.
Yakuwa, Yakuwa,
Ggwe Katonda waffe wekka.
-
2. Otufuula kyonna
Ggwe ky’oba oyagala,
Tukole by’otwetaaza;
’Linnya lyo Yakuwa.
Otuwadde ’nkizo
’Kuba ’Bajulirwa bo.
Tukyenyumirizaamu
Okuba ’bantu bo.
(CHORUS)
Yakuwa, Yakuwa,
Tewali Katonda
Alinga ggw’eyo mu ggulu
Oba wano ku nsi.
Ggwe wekka Ayinza Byonna;
Ka bonna bamanye.
Yakuwa, Yakuwa,
Ggwe Katonda waffe wekka.
(Laba ne 2 Byom. 6:14; Zab. 72:19; Is. 42:8.)