OLUYIMBA 3
Amaanyi Gaffe, Essuubi Lyaffe, Obwesige Bwaffe
-
1. Katonda waffe otuwadde
’ssuubi lya muwendo.
Twagala abantu bonna
balitegeereko.
Naye ’bizibu by’obulamu
oluusi bituyinga
Ne tuterebuka oba
ne tuwugulibwa.
(CHORUS)
Ggwe bwesige bwaffe,
ggwe maanyi gaffe.
Ggwe ssuubi lyaffe, Yakuwa.
Tukutendereza
Katonda waffe;
Tukunywereddeko ddala.
-
2. Yakuwa ggw’otubudaabuda;
kyetuva tusaba
Otuyambe okubeera
abanywevu ddala.
Tuyambe twolek’o buvumu
Era n’obuwulize
Twogerenga ku linnya lyo,
tuligulumize.
(CHORUS)
Ggwe bwesige bwaffe,
ggwe maanyi gaffe.
Ggwe ssuubi lyaffe, Yakuwa.
Tukutendereza
Katonda waffe;
Tukunywereddeko ddala.
(Laba ne Zab. 72:13, 14; Nge. 3:5, 6, 26; Yer. 17:7.)